Bya Ivan Ssenabulya
Minisitule yebyokwerinda ekakasizza nti abantu 5 bebafirirdde mu kuwanayisiganya amasasi okubadde e Ganda, Nansana mu distulikiti ye Wakiso omujaasi wa UPDF bwavudde mu mbeera nakuba banne nabantu babulijjo.
Mu kiwandiiko omwogezi wa ministule kyafulumizza Deo Akiiki, agambye nti L/Cpl Omara Denis Awillo akubye banne aba LDU 2, omuntu wabulijjo 1 nomusirikale wa poliisi.
Akiki akakasizza nti era omujaasi ono bamukubye amasasi, mu kwetaasa nokukomya ebikolwa ebye ebibadde bigenda okutuga abantu abawerako.
Ministule negye lye gwanga bavumirirdde ekikolwa kino.
AKiki agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso, era baakutegeeza egwanga ebinaaba bizuliddwa.