Skip to content Skip to footer

Abantu bakwongera okufa olw’okwejanjaba

Bya Shamim Nateebwa

Abantu emitwalo 70 ku buli bantu obukadde 10 mu nsi yonna baakufa olw’okulemera ku muze gw’okwejanjaba awatali kwebuuza ku basawo.

Kino abakugu bagamba nti era kiviriddeko endwadde ezimu okugaana okuwona olw’emibiri okumanyira eddagala.

Abakulu mu ministry yebyobulamu wano mu gwanga bategezeza ngabantu abejanjaba bwekukyali okusomoozebwa okwamanyi gyebali nga nensimbi ezisasanyizibwa mu kujanjaba abalwadde ng’emibiri gyaabwe tegikyawulira ddagala bweziri empitirivu.

Okusinzira ku minister w’ebyobulamu Dr Jane Ruth Acheng, agambye nti dollar za America 4000 zezisasanyizibwa ku bantu ab’ekikula kino okukira ku dollar 250 ezisasanyizibwa ku mulwadde atalina kizibu kino.

Enddwadde omuli Ekidukano, omusujja gwomubyenda, omusujja gwensiri, akafuba ne mukenenya zezitunuliddwa nti zezisinze okutigomya abantu.

Leave a comment

0.0/5