Skip to content Skip to footer

Easobya ku mukazi bamusibye emyaka 9

Bya Ruth Anderah

Eyakwatira omukazi mu kiyumba ekitanaggwa kkooti enkulu mu Kampala emuwadde ekibonerezo kya myaka 9 ngali mu kkomera e Luzira.

Okao Christopher owemyaka 29 asibiddwa omulamuzi Jane Frances Abodo, oluvanyuma lwa ye kenyini okukiriza omusango.

Ono yetondede omukyala gweyasobyako nga wamyaka 19 nabakyala bonna mu gwanga.

Omulamuzi agambye nti ekibonerezo amuwadde kisaamusaamu, kuba gwe mulundi gwe ogusoose okuzza omusango atenga aboneredde.

Omusango gwobuliisa maanyi yaguzza nga February 11th 2017 mu Kazinga Kiwatule mu Kampala.

Leave a comment

0.0/5