Bya Rita Kemigisa
Police mu Kampala eriko abamenyi bameteeka ababadde begumbulidde omuze ogw’okunyaga abasuubuzi b’okumakya mu katale ke Nakasero
Okusinzira ku mwogezi wa police mu kampala ne miriraano Patrick Onyango, abakwate kuliko Abbas ne Ronnie nga bano bagombedwamu obwala enkya ya leero mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi ku nguudo za Barton street ne William street.
Onyago agamba nti ababiri bano bakyakuumibwa ku poliisi ya CPS Kampala