Bya Ritah Kemigisa
Abasawo abazalisa, bayite Midwives balayidde nti bagenda kwerwanako okufunanga ekyemisana nga bali ku mirimu.
Bino webijidde nga Uganda olwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza olunnaku lwaba Midwife.
Bano okuyita mu kibiina ekibagatta, Uganda Nurses and Midwives Union, bagamba nti babanja gavumenti obuwumbi 70 ezensako yekyemisana.
Pulezidenti we’kibiina kino Justus Cherop mu bbaluwa gyeyawandiise nga 4 May yalangiridde akediimo akatandise olwaleero, kubanga gavumenti eremereddwa okukola kyebajisubiramu.
Bano ekyabatakudde kwekuba nti, ensako yaabwe era teyatereddwa mu mbaliririra ey’omwaka gwebyensimbi ogujja 2021/22.
Agambye nti kimalamu amaanyi okulaba nga gavumenti ensonga zaabwe tezitwala ngekyamakulu, wabula agambye nti bagenda kukozesa olunnaku luno okwongera okubanja gavumenti.
Olunnaku luno luvugidde ku mubala “Follow the Data: Invest in Midwives” n’omulanga okwongera okuteeka ssente mu bujanjabi obwengeri ng’eno.