Bya Barbra Nalweyiso
Omubaka wa munisipalai ye Mityana, Francis Zaake akukulumidde kooti olwokulwawo oksla omusango gwe, gweyawawabira gavumenti nabsirikale ba poliisi 8 balumiriza okumutulugunya nebamutusaako obuvune.
Zaake yabadde ku kooti enkulu, wabula era omusngo gwe, omulamuzi Esta Nambayo er nagwongezaayo.
Bino byaliwo Zaake bweyali akwatidde okuva mu maka ge, nga 19 April 2020 olwokugaba emmere eri abanti ekyali kikontana nebiragiro byomukulembeze we’gwanga ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Zaake yawawabira RPC wa Wamala Bob Kagarura, DPC we’Mityana Alex Mwiine nabalala.
Kati Zaake ayagala kumuliyirira, wabula agamba nti omusango gwe gututte obudde bungi okugusala.