Bya samuel Ssebuliba.
Police olunaku olwaleero yegasse ku kaweefube w’okugaba omusaayi, era nga abaserikale nga 200 bebakunganidde wali e bwebajja leero okugaba omusaayi.
Tutegeezeddwa nti ono yomu ku kawefube ow’okukuza sabiiti enamba ey’abakyala, era nga bino ebikujuko bigenda kukomekerezebwa nga 8th omwezi guno ku lunaku lw’abakyala.
Twogedeko ne Joyce Helga Nassuuna , nga ono avudde mu kitongole ekikola ogw’okukunganya omusaayi ekya Uganda blood transfusion service naagamba nti n’ebitongole bya government ebirara bigwana bikoppe bano bijjumbire kaweefube ow’okugaba omusaayi.
Kinajjukirwa nti kaweefube ono yabadde wakubeera wano city square, kyoka mubwangu dala police n’ekyusa ekifo awatali nsonga gyeyawadde.