Skip to content Skip to footer

Abaana bagudde ku kabenje

Accident vicitim new

Abaana 24 ku ssomero lya Kigando senior school e Mubende bamenyese amagulu n’emikono motoka mwebabadde batambulira nga bagenda ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’omwana omuddugavu ekika kya FUSO UAQ 010E bw’eremeredde omugoba waayo n’agikuba ekigwo

Atwala poliisi ye Kasambya Patrick Nzebikire akakasizza akabenje kano n’ategeeza nga bwebatandise omugyiggo gwa dereeva wa motoka eno adduse oluvanyuma lw’okukola akabenje

Abaana abakoseddwa mu kabenje kano munaana ku bbo baddusiddwa mu ddwaliro e Mubende nga buli bubi ddala ate nga 16 bawereddwa ebitanda ku ddwaliro lya Kasambya health center 3

Leave a comment

0.0/5