Skip to content Skip to footer

Omuyaga gubagoyezza

Omuyaga ogw’amaanyi gukubye amayumba ku mwalo e Mawaala ku Kizinga kye funve mu Gombolola ye Bubeke neguleka amayumba mangi nga gali ku ttaka.

Omuyaga guno guguddewo emisana ga leero ate oluvanyuma enkuba ey’amaanyi n’etonya nga abantu bafiiriddwa ebintu byaabwe

Okusinziira ku Ssentebe w’omwaalo guno Gerald Kalyango, abantu abasoba mu 20 bebakoseddwa omuyaga guno.

Kalyango asabye abakulembeze ba zi disitulikiti ye Kalangala awamu n’ababaka ba Palamenti ko n’ekitongole ekiddukirize ekya Red Cross okuvaayo mu bwangu okuyamba abantu abakoseddwa kuba abasinga tebakyaalina wakusula

Guno gwemuyaga ogw’okusatu ogwonoonye ebintu mu disitulikiti eno mu bbanga lya myezi esatu nga ogwasooka gwayonoona ebintu ku mwalo e Kitobo ate omulala negutawaanya abantu ku mwalo e Ddajje.

Leave a comment

0.0/5