Bya Prosy Kisakye
Bann-Uganda abasinga tebakiriziganya nekyomukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni okuddamu okwesimbawo ku bukulembeze bwe gwanga mu 2021.
Okunonyereza okwakoleddwa ekitongole kya Research world International kulaze nti abantu 54%, tebawagira kiteeso kino.
Okunonyereza kuno kwakoleddwa mu district za Uganda 60, nga mu mwezi ogwokuna ogwawedde.
Bwabadde afulumya alipoota yaabwe ssenkulu wekitongole Patrick Wakida, agambye nti abasinga bagala presidenti Museveni awummule.
Ebibalo era biraga nti aba NRM 32% tebagala Museveni avuganye, atenga 68% bakiwagira ne ssekuwagira yenna.