Bya Ruth Anderah
Kooti yamagye etuula e Makindye etaddewo olwanga May 13th 2019, olunaku lwegenda okulamula omusango gweyali omuyima wa Boda Boda 2010 Abdullah Kitatta ne banne bwebavunanibwa emisango gyokusangbwa nebyokulwanyisa mu bukyamu.
Olunnaku luno lulagiddwa ssentebbe wa kooti eno, etulako abalamuzi 7 Lt.Gen Andrew Gutti.
Kitata avunanibwa nabantu abalala 9, emisango gyokusangibwa nebyokulwanyisa ebirina okubeera mu mikono gyamagye, atanega bantu baabulijjo.
Mu lutuula olwasembayo munnamateeka wa Kitatta, Shaban Sanywa yakuba ebituli mu buju;izi bwoludda oluwaabi, nti tebwalimu nsa, songa oludda oluwaabi lwasaba kooti nti Kitatta bamusingise emisango egyo.