Bya Ritah Kemigisa
Omuntu omu yafiridde mu muliro ogukutte ekimotoka ekibadde kyetisse ebidomola byamafuta e Fort portal akawungeezi akayise.
Mmotoka eno kika kya lukululalana namba UAW 038/M ekutte omuliro ku luguudo lwa Winy-Kasaija.
Omudumizi wa poliisi mu district ye Kabarole Godliver Twinomugisha, akakasizza akabenje kano, nga kagudde mu West division mu munisipaali ye Fortportal.
Omugenzi ategerekese nga Tumwesige Kiyaye, atenga abantu abalala baddusiddwa mu ddwaliro lya Buhinga bajanjabibwa.
Polisi ekyanonyereza ddala kiki ekyavuddeko omuliro guno, wabulanga kisubirwa nti ebiddomola, byamafuta bubadde bitonnya, amafuta negatandika okukulukuta ppaka ku ekizoosi.
Poliisi etegezezza ngebintu ebiwerako ebibalirirwamu obukadde nobukade bwensimbi, bwebitokomose okubadde amadduuka 6 ne pikipiki 2 ebibadde okumpi.