Bya Shamim Nateebwa, Abakulembeze b’obusiramu ku muzikiti e Kibuli batabukidde abamu ku basiramu banaabwe abenyigidde mu kusanyawo ebintu by’obusiramu naddala amasomero ga UMEA be bagambye nti ku mulundi guno sibakuweebwa mwaganya.
Bino byabadde ku muzikiti e Kibuli ku mikolo egya mawuledi egy’okujjaguza amazaalibwa ga nabbi Muhammad.
Supreme mufuti wa Uganda Sheikh Sulaimaan Kasule Ndirangwa asinzidde ku mukolo guno nategeeza abasiramu nti waliwo ekibinja kya basiramu kye bategeddeko ekyagala okwezza ettaka n’okutundu amasomero g’obusiramu, n’agamba nti ku mulundi basanze balaba si bakukkiriza masomero gano kusaanawo.
Supreme mufuti asabye abasiramu okukozesa amazaalibwa ga Nabbi Muhammed okwefumitiriza ku mizze egiri mu ggwanga era n’asaba n’ebitongole ebikuuma ddembe okukendeza ku bukambwe bwe bakola ku banansi.
Akulira Ddaawa era omwogezi we Kibuli Sheikh Nooh Muzaata Batte, ye yategeezeza nti kye wunyisa amasomero ga UMEA agamze emyaka egisuka mu 30 bannakigwanyizi okwagala okugasanyawo