Bya Juliet Nalwoga, Bannauganda 2 bakakasidwa okuba nga bakubiddwa ebyasi ebibagye mu budde ku nsalo ya Uganda ne Rwanda.
Bino bibadde ku kyalo Tabagwe mu disitulikiti y’e Nyagataree Rwanda era nga kigambibwa bano battiddwa eggye ly’eggwanga elya Rwanda ku bigambibwa nti babadde bakukusa taaba okumuyingiza munsi yaabwe ate nga kimenya mateeka.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye kigezi Elly Mate abagenzi atubulidde nti kuliko Byarushaga Ayub owemyaka 37 omutuuze we Nyakabungo, mugombolola y’e Kamwezi mu disitulikiti y’e Rukiga ne Tuhirwe JohnBosco owemyaka 30 .
Mate agamba nti amawulire gano gabaweredwa kitaawe wa Byarushaga Musule John Bosco,
Emirambo gyabwe gitwalibwa mu ddwaliro e Nyagatare okwongera okwekebejebwa.