Bya Mose Ndaye.
Government esabye ekibiina ekigatta abasomesa ekya UNATU okubaga amateeka aganaayitwamu okukangavula abasomesa abadda ku baana okubasobyako.
Kuno okusaba kukoleddwa minisita akola ku kikula ky’abantu Hajati Janet Mukwaya bwabadde eyogerera mu tabamiruka w’abasomesa ow’omulundi ogwa 14th.
Ono agamba nti government ekola kyonna ekisoboka okumalawo ekikolwa kino, wabula abasomesa bbo balinga abatafaayo.