Abakungu okuva mu minisitule ekola ku nsonga z’abakozi ne KCCA bassiddwa ku nninga okunyonyola lwaki abasomesa mu Kampala tebannafuna musaala gwa mwezi oguwedde
Ensonga eno ereeteddwa omubaka we Kalungu mu bugwanjuba Joseph Sewungu bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku palamenti
Sewungu agamba nti afunye amasimu agawera okuva eri abasomesa mu Kampala nga bemugulunya ku musaala gwebatalabako
Ono agamba nti ensonga eno nga tekwatiddwa bulungi, abasomesa boolekedde okuddamu okwekalakaasa
Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju yasuubiza okutunula mu nsonga eno kyokka nga tewali kyalabiseeko.