Bya Prossy Kisakye,
Abakayala okuva mu kibiina ki Women’s Situation Room Uganda (WSR), ekitakabanira okulonda omutali buvuyo, kisabye abali ku ludda oluvuganya abawulira nga babbibwa mu kalulu kakagwa okwetanira enkola eya mateeka mu kifo kyokwenyigira mu bikolwa ebyobutabanguko
Kino kidiridde gyebuvudeko poliisi e Masaka, Luwero, Rakai ne Mityana okulwanagana na bekalakaasi abeyiwa kunguudo amangu ddala ngákakiiko ke byokulonda kamaze okulangirira Yoweri Museveni ngómuwanguzi wókulonda okwaliwo ku lunaku olwókuna olwa ssabiiti ewedde
Poliisi e Masaka yakakasiza nga abantu babiri abenyigira mu kwekalakaasa kuno bwebattibwa oluvanyuma lwokukubibwa masasi wakati u kubagumbulula
Wabula mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala, Yvette Chesson, omutandisi wa Women’s Situation Room mu Africa, ategeezeza nti bannauganda oluvanyuma lwokulonda essira balina ku liteeka mu kukola enyo basobole okufuna ensimbi nókwekulakulanya wabula nga bino tebisobola kutukikako awatali mirembe na butebenkevu
