Skip to content Skip to footer

Abatawulira baddukidde mu palamenti

Bya Sma Ssebuliba

Ekibiina ekitaba abantu abliko obulemu, bwakiggala  ekya Uganda National Association of Deaf nga bali wamu naba Initiative for social economic rights baddukidde mu wofiisi yomumyuka womukubiriza wa palamenti Jacob Oulanyah nga bemulugunya ku byenjigiriza byabaana abatawulira.

Kati bano bagala palamenti ekake ministry yebyebjigiriza nemizannyo, nekitongole ekivunayzibwa ku bisomesebwa, okusomesanga olulimi lwaba kiggala amu masomero okutukira ddala mu Secondary.

Bwabadde asoma ekiwandiiko, kyebataddemu okwemulugunya kwabwe akulira emirimu mu kibiina kya initiative for social and economic rights Musa Mugoya agambye nti abasomesa ba primary, abamatendekro aga waggulu okutukira ddala kuzi university bagwanidde okubasomesa, sign lanuage.

Agambye nti kimalamu amanyi kubang amasomero ga primary 11 mu gwanga gesomesa olulimi luno, ku gano 6 gega gavumenti ate amasomero 4 gega, nga 3 gega gavumenti.

Mu kwanukula omumyuka wa speaker Jacob Oulanyah agambye nti ababaka babaliko obulemu mu palamenti, bagenda kubaga ekiwandiiko kyebaganeda okwanja mu lutuula olwawamu.

Leave a comment

0.0/5