Skip to content Skip to footer

Bukenya awolereza minister Byandala

Prof Gilbert Bukenya
Prof Gilbert Bukenya

Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof. Gilbert Bukenya agambye nti wandiba ngawaliwo obusosoze mu kusika omuguwa okuli mu ministry y’ebyenguudo.

Kino kidiridde minister w’ebyentabula n’eguudo Abraham Byandala okulumiriza gweyadira mu bigere Eng John Nasasira okumulima empindi ku mabega, ngamulumiriza okugaba contract ya buwimbi 24 okukola oluguudo oluva e Mukono okudda e Katosi mu bukyamu.

Bukenya agambye nti wandiba nga waliwo akabinja k’abantu mu ministry y’ebyenguudo abafunyiridde okusuza Byandala omugaati.

Bukenya agambye nti obusosoze obuyitiridde mu bitongole bya government bwebuviriddeko obuli bw’engzi okweyongera.

Leave a comment

0.0/5