Skip to content Skip to footer

Abateberezebwa okuzza e misango 24 bakwatiddwa.

Bya Samuel ssebuliba.

Police wano mu Kampala ekutte abantu 24 nga  bano bateberezebwa okubeera ku kibinja ekirudde nga kiriisa bana kampala akakanja nadala wano mu masekati ga Kampala.

Bino bigidde mu kaseera nga abantu  bakaaba olw’okubibwako amasimu gaabwe naddala wano ku Nakivuubo Channel, Dewinton Road, Plaza Mall newalala.

Luke Owoyesigyire nga ono yayogerera police mu kampala n’emiriraano agamba  nti ekikwekweto kino kiri wansi wekiwendo ekyatuumidwa Dumisha Usalaama , nga kino kigenderedwamu kumalawo banyazi wan mu Kampala.

Leave a comment

0.0/5