Bya Abubaker Kirunda.
Wano e jinja waliwo abanyazi abalumbye ekifo omunsulirwa omuceera okukakana nga balese baseeyo omuntu.
Eno enjega ebadde wano e Walukuba-Masese Division ku kampuni eya Obk rice millers limited
Attidwa ategerekese nga Binasali Kaweesi nga ono abadde akola gwa kukwata ensimbi, nga ono alumbiddwa abanyazi ab’emundu 2 ne bamukuba amasasi agamusse
Aduumira police yeeno Vincent Irama agamba nti mukavuyo kano omunyazi eyabadde emundu yakubye munne gweyazze naye Chris Obongmoi nga ono ye mukaseera kano police emulina.