Bya Prossy Kisakye, Abatembeeyi abatambuza eby’amaguzi nga begatira mu kibiina kyabwe akya Kampala mobile district Hawkers Forum bawanjagide omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okudamu okulondoola ku ensonga ya banaabwe abakwatibwa.
Bano bagamba nti ekiragiro kya pulezidenti kyeyayisa gye buvudeko eky’okuta abatembeeyi abasibwa mu makomera tekyatekebwa mu nkola nabuli kati banaabwe bakyaliyo mu makomera babonabona.
Okusinzira ku sentebe wa batembeeyi bano Sadam Ssenoga bakolera mubugubi kyokka ne bakwatibwa ne batekebwa mu makomera.
Bano era bakukulumidde ekitongole kya kcca okulwawo okubawa pamiti ezibakkiriza okukolera mu kibuga bawone ebyokubakwata buli budde ekibavirako okufiirizibwa.