Skip to content Skip to footer

Abatooro beekalakaasizza

Komuntale

Ekibinja ky’abantu okuva mu bukama bwe Tooro olwaleero kizinze kooti etaputa ssemateeka nga kyekalakaasa lw’amawulire agafuluma ku mubejja waabwe gebagamba nti gamulengezza

Ekibinja kino kibadde kikutte ebipande ebisaba nti empappula z’amawulire zikome okuwandiisa ebikyaamu ku mumbejja waabwe , bamuwe ekitiibwa kye

Bano bagaala gavumenti ekangavvule emikutu gy’amawulire gyonna egiwandiika ebyanjwanjwa ku Komuntale.

Okwekalakaasa kuno kuzze mu kiseera ng’okuwulira emisango egyawaabwa abatooro girina okugenda mu maaso mu kooti yeemu.

Gino wabula tegigenze mu maaso nga kati gyakuwulirwa nga 27 omwezi gwa january

Leave a comment

0.0/5