Bya Ivan Ssenabulya ne Damalie Mukhaye
Abataputa ensonga zeby’obufuzi bliko byebogedde ku lukiiko lwaba minisita olwalondeddwa omukulembeze we’ganga.
Abamu ku balondeddwa Jesca Alupo yalondeddwa ngomumyuka womukulebeze w’egwanga, Robinah Nabbanja ye ssabaminisita we’gwanga omugya.
Kati bwabadde atukyaliddeko wano, akawungeezi akayise Godber Tumushabe, ssenkulu wekitongole kya Great Lakes Institute for Strategic Studies, agambye nti wakyaliwo ebibuuzo bingi ku kabineti eyalaondeddwa obanga ddala banasobola okukulembera egwanga.
Okusinziira ku Tumushabe, bano batekeddwa okukola ennyo okumataiza abantu nokwejjamu kyebabadde nti bakwanaganya oba banoonyi ba bululu.
Ono agambye nti tanakiriza abausabuusa nnyo obuwereza bwa Nabbanja, obanga ddala alina obusobozi okuwereza nga Ssbaminita we’gwanga.
Ate abantu omukulembeze we’gwanga beyalonze mu minisitule yensonga zomunda mu gwanga, kabonero akoleka engeri gyayagala okufuula poliisi eyamagye.
Bino byogeddwa, abekibiina kya National Unity Platform, abavuganya gavuenti kubanga minisitule eno yetwala poliisi.
Gen Kahinda Otafiire yalondeddwa kubwa minisita owensonga zomunda mu gwanga, waakumyukibwa Gen David Muhoozi.
Kati bwabadde ayogerako naffe, omwogezi wa NUP Joel Ssenyonyi agambye nti abanatu tebasubiira kyamanayi okuva mu bebalonze kubanga tebalondeddwa lwabusobozi naye kwabadde kubasiima olwokuwagira NRM.
Ono era alabudde munna FDC Owek. Joyce Nabbosa Ssebugwawo okubeera omwegendereza nga tanakiriza ekifo kya minisita mu gavumenti ya NRM.
Owek. Ssebugwawo yalondeddwa kubwa minisita owebyuma bi kalimagezi.
Ssenyonyi agambye nti asaanye okutwala ekyokuyiga ku banne okuli Betty Kamya, Nakiwala Kiyingi, Sarah Kanyike nabalala bebakaozesezza ate nebabasuula.
Wabula omubaka wa West Budama Jacob Oboth Oboth okubawa omukisa bawereze, obutababusabuusa.
Oboth yoomu ku balondeddwa omukulembeze we’gwanga, ye minisita omu beezi owabazirwanako.