Bya Shamim Nateebwa
Ku kyalo Golo mu disitulikiti y’e Mpigi abatuuze baguddemu enkyukwe oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo gw’omusajja eyetuze.
Omusajja ono tamanyiddwa mu kitundu ngabatuuze kibabuuseko okumusanga nga yeeyimbyemu ogwakabugu.
Atwala poliisi y’amaserengeta g’egwanga Joseph Ayiki ategezezza ngomusajja ono bw’atalina kimwogerako nga era bakyanonyereza ensonga eyamuviiriddeko okwetuga.
Gwo omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago ngokunonyereza bwekukyagenda mu maaso.