Bya Shamim Nateebwa
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kasambya mu gombolola ye kituntu mu district ye Mubende omuvubuka bweyekatankidde waragi womubuveera n’agwa ku kubo n’afa.
Charles Ssebugwawo yeyekatankidde entabaaza bakadde n’emukanula era atambuddemu gumu ebiri n’agwa ku kubo n’afa.
Abatuuze bategezezza ngono bw’aliko banne bwebawunzika endeku nga bazze babalabula enfunda eziwera wabulanga bafuyira ndiga mulele.
Atwala poliisi ya Kituntu Rose Nagai abadde awerekedde omulambo gwono okwekebwejjebwa e Mulago oluvanyuma lwaboluganda lwe okubusassa bussa enfa akkirizza ab’enganganda z’omugenzi okumuziika oluvanyuma lwokukassa nti yafudde mwenge ssi butwa.