Bya Mbogo Sadat
Abatuuze ku kyalo Nswanjere mu ggombolola y’e Muduuma mu district ey’e Mpigi baguddemu entiisa bwebagudde ku mulambo gw’omusajja nga gusuuliddwa.
Omulambo guno tegunnategeerekeka era gusangiddwa mu kibira ekimanyiddwanga Waduguma era gusangiddwa gutandise okuvunda nga tebitundu byomubiri ebimu biriiriddwa ensolo z’omunsiko.
Police y’e Mpigi ng’eduumirwa DPC Joab Wabwire ezze omulambo neeguggyawo n’egutwala mu ggwanika ly’eddwaliro e Mityana nga okunonyereza bwekugenda mu maaso.