Skip to content Skip to footer

Abatuuze balagyanidde gavumenti ebayambe ku bbula ly’amazzi

Bya Prossy Kisakye, Abatuuze b’e Bugambakimu mu gombolola y’e Kito mu District y’e Nakaseke balagyanidde gavumenti okubaddukirira ku kizibu ky’amazzi.

Abatuuze batutegezeza nti endwadde naddala embiro ebasseemu abantu abawera kyokka nga ne kolera akyabagoya olw’amazzi ge bakozesa obutaba ga mulembe.

Bano okwogera bino babadde basisinkanyemu omukubiriza w’olukiiko lw’abavubuka ba Buganda Allan Mayanja Ssebunya, eyabasakidde nayikonto okugira nga ebayambako nga bwebalinda gavumenti okubaddukirira.

Ssebunya, yekokodde nyo abakulembeze abalondebwa abantu kyokka ne batuuka mu bifo ne bakulembeza byabufuzi ku nsonga eziruma abantu.

Nnayikonto ekwasiddwa abatuuze bano yakutaasa abatuuze naddala abaana okutambula obuwanvu bwa Miles 3 okunonya amazzi, wamu n’okukendeeza ku kikwata bawala ku kitundu.

 

Leave a comment

0.0/5