Skip to content Skip to footer

Munnamateeka eyakubwa ku by’essimu afudde

Bya Prossy Kisakye, Poliisi ekakasiza okufa kwa munnamateeka eyakubibwa abatuuze e Mutungo kunjegoyego z’ekibuga a Kampala oluvanyuma lw’okumutebereza okuba omubbi w’essimu.

Amyuka omwogezi wa police mu Kampala ne miriraano Luke owoyesigire ategezeeza nti omugenzi ye Peter Kibirango nga yali agenze kugyayo sente ku mobayilo manne wabula mu kuvaayo nasitula essimu eyali eriranye ccajjaye mu butali bugenderevu ng’alowooza nti yiye.

Essimu kigambibwa nti yali ya musirikale wa updf bweyaginonya nga tagilaba kwekulondoola kibirango era bamusanga nayo nabetondera nti yali agitate mu butali bugenderevu wabula tebamuwuliriza ne bamukuba bubi nyo ekyamuvirako okufuna ebisago ebyamaanyi era bye byamuvirideko okufa.

Owoyesigire agamba nti bakute abateberezebwa okuba nti bebaamukuba nga kuliko n’omusirikale nannyini ssimu eyavaako kannaluzaala era bakugulwako omusango gwa butemu

Leave a comment

0.0/5