Bya Gertrude Mutyaba
Enteekateeka z’okukuza olunaku lw’abakozi mu gwanga olugenda okuberawo sabiiti ejja ku Lwokubiri mu district ye Sembabule ziwedde.
Okusinziira ku bakulembeze, omugenyi omukulu asubirwa okubeera omukulembeze w’egwanga Yoweri Kaguta Museveni.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Masaka Lameck Kigozi akakasizza abantu ng’ebyokwerinda bwebiri gulugulu.