Bya Benjamin Jumbe, Ekitongole ekiramuzi kivudeyo ne kisambajja ebyafulumidde mu mawulire nti abasirikale abakuuma omulamuzi Yorokamu Bamwine bakubye amasasi abantu abateberezebwa okuba nti babadde balinya akagere omulamuzi ono
Kigambibwa nti bino byaliwo ku lunaku lwakusatu e Kamwokya kunjegoyego zekibuga Kampala
Amawulire galaga nti poliisi ye Kira yayimiriza emotoka egambibwa okuba nti yali egoberera omulamuzi Bamwine ne bakubako omu kubbo essasi eryamulumya ne bakwata na balala
Ngayogerako ne radio eno omwogezi wekitongole ekiramuzi Solomon Muyita ebyogerwa abijunguludde bwategezeza nti ku lunaku olwo omulamuzi Bamwine na bakuumibe bali mu bitundu bya mambuka g’eggwanga era nasaba poliisi eyongere okunonyereza.