Skip to content Skip to footer

Omulamuzi Tsekooko aziikibwa leero

Bya Prossy Kisakye, Eyaliko omulamuzi mu kkooti ensukulumu omugenzi Wilson Tsekooko aziikibwa leero ku bijja bya bajjajjabe ku kyalo is Bunakhaima mugombolola y’e Butiru ekisangibwa mu disitulikiti y’e Manafwa.

Tsekooko yassa ogw’enkomerero ku lunaku lw’ebbalaza nga aweza egy’obukulu 77, at ku ddwaliro lya Norvik hospital mu Kampala oluvanyuma lwokutawanyizibwa ekirwadde kya kokolo w’obusajja.

Omugenzi wakujukirwanyo mu kitongole ekiramuzi ng’omusajja eyakuuma ekitiibwakye mu buli kintu, omusajja ow’amagezi enyo omuwombefu ate nga takyusibwa nansimbi

Bannamateeka banne bamwogerako ng’omusajja eyali takyusa kigambo kye ate nga nga muzibu wakuwakanya mu kusalawokwe olwamagezi amagezi amangi katonda geyamuwa.

Omulamuzi Tsekooko yawerereza mu kkooti ensukulumu okuva mu mwaka gwa 1994 okutuusa 2015 era eno yawozesa ne misango 2 egy’okulonda kw’omukulembeze w’eggwanga egyava mu kulonda kwa 2001 ne  2006. Era nalagira okulonda kudibwemu nti pulezidenti Museveni tewangulira ku mazima

 

Leave a comment

0.0/5