Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu disitulikiti ye Bulambuli etandise okunonyereza kungeri namukadde gyeyafuddemu, kigambibwa oluvanyuma lwokulya embaata eyabadde wereddwa obutwa.
Omugenzi ye Aisha Namakoye ngabadde wamyaka 81, mutuuze we Bunambutye mu gombolola yeemu e Bulambuli.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Rogers Taitika agambye nti okunonyereza kwabwe okusooka kulaga nti ono yalidde enyama yembeeta gyebabadde basse nobutwa.
Kati omulambo gukumibwa mu gwanika lyeddwaliro ekkulu e Mable, abakugu gyebagenda okugwekebejja wakati mu kunonyereza okugenda mu maaso.