
Bya Sam Ssebuliba
Nga tanabugumya na ntebe bulungi , omwogezi wa poliisi omujja Assan Kasingye ategezezza nga abatemu bwebatandise okumulaalika okumutta agoberere gweyaddira mu bigere Andrew Felix Kaweesi.
Bino byonna okubaawo nga gweyaddidde mu bigere Andrew Felix kaweesi kyajje atibwe abatemu abatanaba kutegerekeka oluvanyuma lw’okumulaalika enfunda eziwera.
Kati bw’abadde ayogerako nebannamawulire olwaleero, kasingye ategezezza nga bw’azze akubibwa amassimu agamutiisatiisa wamu n’okuweerezebwa obubaka okuva eri John Kagimu.
Kasingye agamba poliisi etandise okuyigga omusajja ono ekigendererwakye ekitanaba kutegerekeka.
Kaweesi yatibwa abatemu abatanaba kutegereke omwezi oguwedde bweyali ava mu makage e Kulambiro nga n’okutuusa kati poliisi ekyanonyereza