Bya Malik Fahad.
E Lyantonde police ekutte abantu basatu nga bano bagambibwa okubaako kyebamanyi kukutibwa kw’omutuuze, nga ono omulambogwe gwasangiddwa nga gusuulidwa mu mazzi.
Omugenzi ayogerwako ye Godfrey Mwesigye nga ono yali mutuuze ku kyalo ky’emamba mu gombolola ye Lyakajura
Abakwatidwa bonna baggidwa ku kyalo Kyamba , police bwekitegedeko nti babade bekukumye oluvanyuma lw’okuzza omusango guno
Okunonyereza kwa police okusooka kulaze nga ono bweyalina enkayana zetaka, kale nga yensonga lwaki yandiba nga yattidwa
Ayogerera police yeeno Lameck Kigozi akakasizza okukwatibwa kwabano.
