Skip to content Skip to footer

Eyasiiga omwana siriimu asibiddwa

Bya Damali Mukhaye

 

Omuwala ow’e myaka 18 agambibwa okusiiga omwana wa mukamawe akawuka aka mukenenya kooti  emukalize ku kibonerezo kya myaka 3 mu komera.

Omuwala akaligiddwa ye Jemima Nasifa atera okweyita Tumukunde Zainanbu , nga ono okusibwa asoose kukiriza musango mu maaso gomulamuzi wa koot eya City Hall Beatrice Kainza.

Obujulizi obuleetedwa omuwaabi wa government Jackie Kyansimire bulaze nga omukyala ono wakati we  30th June and 3rd July 2017  wali mu maka ga bakamaabe e Kiwatule Kazinga zone gyeyali akola nga Yaaya , bweyegyako omusaayi n’aguteeka ku kawundu akaali ku nyindo y’omwana ono ow’emyaka 2 gyoka okukakana nga amusiize mukeenya.

Kati  omulamuzi amulagidde egendeko e Luzira okumala emyaka 3

Leave a comment

0.0/5