Bya Ruth Anderah
Omufumbi ku restaurant emu mu Kampala akwatiddwa natwalibwa ku alimanda e Luzira ku bigambibwa nti yabbye obumonde obuzungu okuva ku bakama be.
Tatibu myaka 20 chef ku Chill restaurant Kisementi mu Kampala yasimbiddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende namusindika mu Kamera e Luzira ajira yebaka yo oluvanyuma lw’okwegaana omusang gw’obubbi.
Tatibu avunaniddwa wamu ne mune Musis Joseph.
Kigambibwa nti ababiri bano nga March 22rd 2017 ku Chill restaurant mu Kampala babba kilo z’obumonde obuzungu 20 nga bubalirirwamu emitwalo 292000 shillings .
Omulamuzi abasindise e Luzira okutuusa April 24th omusango lwegusubirwa okutandika okuwulirwa.