MUKONO
Bya Ivan Ssenabulya
Omubaka we Mukono Municipality Betty Nambooze asabye abavuganya government mu uganda okuwagira ennyo aba-NASA abakulemberwa Raila Odinga okwezza ekifo kyobukulembeze bwe gwanga.
Nambooze agambe nti singa NASA ewanggula guno gugenda kuba mukisa munene ogwokununula uganda okuva mumikono gya NRM, kale nga kino bagwana okukitwala nga ekikulu.
Nambooze agamba nti akadde konna wakugenda mu Kenya ayambeko mukuyigira Odinga akalulu.