Skip to content Skip to footer

Kooti Ensukulumu mu Kenya Esazizaamu Okulondebwa kwa Uhuru Kinyata

KENYA

Kooti ensukulumu mu gwanga lya Kenya, ekozze ekyafaayo mu nsi yonna, bwesazizaamu okulonda kw’obwa President okubadde kwakaggwa.

Kinajukirwa nti mu kulonda kuno munna Jubilee Uhuru Kenyatta yamegga  Railla odinga owa Nasa, okukakana nga adukidde mu kooti okuwakanya ebyava mu kulonnda.

Omusango guno gubadde mu maaso g’abalamuzi 7 okuli.

1-Ssabalamuzi  David Maraga,

2- amyuka sabalamuzi  Philomena Mbete Mwilu

3- Hon Justice Mohamed Khadar Ibrahim

4-Justice Prof Jackton Boma Ojwang

5- Justice Dr Smokin Wanjala

6-Lady Justice Njoki Susanna Ndung’u ne

7-Justice Isaac Lenaola.

Guno omusango gwesigamizibwa ku mpagi satu okuli  ebigambibwa nti  kuno okulonda tekwatambulira kumateeka gakulonda, okubaamu ebirumira, nga kwogasse nokuba nti bw’ogatta bino 2, kikosa okulonda kwonna.

Kati bwabadde awa ensala ya leero Ssabalamuzi  we gwanga lino David Maraga, agambye nti mumusango gwonna abalamuzi 2 bokka bebawakanyiza ekyokudamu okulonda, olwo abataano abasigadde nebakikiriiza nti akalulu kabiobwa.

Ssabalamuzi agabye nti kituufu waaliwo ebirumira  mukulonda mwenyi , mukutambuzza obululu kko n’emukubala, kale nga kino kitegeeza nti okulonda tekwali kw’amazima wadde.

Kati bano bawadde akakiiko k’ebyokulonda enaku 60 zokka okudamu okutegeka okulonda.

Mukwogera yye Raila Odinga agambye nti ekikoleddw kiraze nti kooti ya Kenya erina obwetaze, era nga eyimiridewo ku lw’amateeka, sosi maanyi ga government.

Kati ono asabye banakenya bonna okusigala nga bakakamu balinde enaku 60 ezibagambiddwa akalulu kalamule.

Wabula kati banna-Kenya nadala abawagizi bo’ludda oluvuganya gavumenti, bali mu kujaganya, okutagambika mu bitundu nga Mombasa, Kisumu nawalala.

Mu kibuga Kisumu ewakira obuwagizi bwa Raila odinga – efuuse mbaga.

Eno abantu bali mukujaganya okutagambika era nga  amakubo gonna gawemberedde abantu.

 

Leave a comment

0.0/5