Bya Samuel Ssebuliba
Police ekyaremereddwa okunyulula emirambo gyabantu 3, mu mazzi, mmotoka mwebaali bweyagwa mu mugga Karuma wiiki ewedde.
Kimotoka kika kya loole namba UAW 356/C eyali yetisse muwogo okuva e Paidha ngedda mu district ye Hoima yagwa mu mugga nga kisubirwa abantu bano bafa .
Bwabadde ayogerera mu lukungaana lwabannamwulire ku Media Center mu Kampala, owmogezi wa poliisi mu gwanga Assan Kasingye abasattu abamenye, nga kuliko Baraza Nelson, Arafat ne Abunya gemannya agakategerekekako.
Akakasizza nti nga poliisi tebatudde bakola ekisuboka, ba lubbira baabwe bafefetta okuzuula wa webali.