OBUBAKA BWA EID
Abayisiraamu bonna mu gwanga basabidwa okwesambira dala ebikolwa ebyokuyiwa omusaayi, kko nokwenyigira mubumenyi bwamateeka
Bwabadde akulembedemu okusaala e wali ku muzigiti gwa old kampala,muft Sheik Shaban Ramadhan Mubajje agambye nti obuyisiramu diini yamirembe, kale nga okweta mubikolwa eby’ekko kikummya empeera.
Ate e Kibuli okusaala kuwedde nga eno okusaala kukulemebedwamu Sheik Yusufu Mutimba.
Ono mukwogera ayambilidde ababaka ba paraliment bagambye nti ebyokuteseza abantu babaivaako, nga kati kyebakola kwekuyisa amateeka nga beesigamye kunguzi ebawereddwa.
Ate wano ku mzigiti ogwa African yo okusaala kwawede .
Eno okusaala kukulembedwamu Sheikh Sulait Kayima nga ono asabye buli muyisiramu okufuba ookusadaaka, nga kwogasse nokusigala kumulamwa nga bajaguza Eid eno.
Yyo ku Nakivubo Blue ewasabidde aba-tabulique , akulemebedamu okusaala kuno Amir Ayub Nyende ategeezeza nga bwebatandise bwebagenda okudukira ewa ssabalamuzi wa uganda nga baagala omusango gwamuntu waabwe sheik Yunusu Kamoga mwawakanyisa ekibonerezo ekyamayisa gukolebweko mu bwangu.
Wabula bino byonna nga bigenda mu maaso yo police wano mu kampala nemiriraano etutegeezeza nga bwenywezeza ebyokwerinda mbuli kasonga ka kampala, nadala kumizigiti ebifo ebirara omukunganirwa.
Twoogedeko na’yogerera police wano mu kampala n’emiriraano Emilian Kayima nagamba nti abayisramu bonna bagwana bagenda okusaala nga bagumu kubanga police efaayo, wabula nga nabo balina okukaza amaaso kubanaabwe bebatekakasa