Skip to content Skip to footer

Abatuuze be’Seeta bemulugunya ku basanyawo olutobazi

Bya Ivan Ssenabulya

Abatuuze be Seeta mu munisipaali ye Mukono basula babutabutana, oluvanyuma lwo’muggaga atanategerekeka okutandika okusanyawo olutobazzi.

Abatuuze bagamba nti olutobazi lwokka lwebalina mu kitundu, baatandise okuluyiwamu ettaka nga kikolebwa mu budde obwekiro.

Basabye ekitongole ekivunanyizibwa ku buttoned bwensi okuvaayo bataase olutobazi luno.

Kati omukubiriza w’olukiiko lwa disitulikiti ye Mukono, Betty Nakasi asabye minisita omubezi owo’butonde bwensi okuyingira mu nsonga zino.

Leave a comment

0.0/5