Bya Ivan Ssenabulya

Abatuuze ku byalo Nkakwa ne Masugga mu gomboloola ye Ss e Bukunja mu district ye Buikwe basobeddwa ekka nemu kibira oluvanyuma lwo’mugagga Lome Richard eyeyita nanyiini ttaka kwebatudde okusenda emmere yabwe yonna.
Ettaka lino liwerako yiika 500 nga’batuuze babadde balimirako ebirime ebyo’kutunda omuli Cocoa, Bogooya, emitti nebirala.
Bano bagamba nti bawangalidde ku bibanja bino okumala emyaka nebisiibo, ngomugagga ono babadde tebamunayiiko.
Wabula omukungu womugagga Lome nga ye Badru Ssekiziyivu atugambye nti basenze ettaka lino kubanga abatuuze babadde tebabawa busuulu.
Yye omubaka wa gavumenti mu district ye Buikwe Fred Bamwine alagidde omugagga ono akwatibwe.