Skip to content Skip to footer

Omulambo gwa Kategeya gutuuse

Kategeya

Omulambo gw’abadde amyuka katikiro asooka era nga ye minister w’ensonag z’amawnaga ga East africa Eriya Kategeya gusuubirwa akadde konna mu ggwanga

Omwogezi wa gavumenti Mary Karooro Okurut agamba nti nga gwakatuuka gwakutwalibwa e Mulago gwekebejjebwe .

Olunaku lw’enkya gwakuleetbwa mu palamenti abantu bagukubeko eriiso evvanyuma n’ababaka okusiima emilimu gy’akoledde eggwanga lino.

 

Ku lunaku lw’okusatu, omwoyo gw’omugenzi gwakusabirwa ku All Saints cathedral e Nakasero nga tegunnatwalibwa mu kyaalo kye Itojo mu district ye Ntungamo.

Omugenzi wakuziikibwa ku lunaku lw’okuna ku ssaawa mukaaga

Bbo abantu abatali bamu bakyagenda mu maaso n’okukungubagira omugenzi omuli n’akulira eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni.

Kategaya yafa ku lunaku lw’omukaaga oluvanyuma lw’okumala ebbanga ng’ajjanjabibwa mu ddwaliro lye Nairobi.

 

 

Leave a comment

0.0/5