Bya Ivan Ssenabulya
Abavubi ku mwalo gwe Katosi mu district ye Mukono, batanudde okulumiriza aba-Nyarwanda okuleeta obutali butebenkevu mu kitundu.
Aba-Nyarwanda bano bagenze beyongera mu kitundu, ngokusinga bavuba mukene, wabula abasajja bagamba nti bano batandise okubasigulira bakazi baabwe.
Omumyuka wa ssentebe mu kitundu Esther Najjuka agamba nti, bano baganza abakazi abafumbo, ekyandivaako entalo mu kitundu ate nokusasaanya ebirwadde.
Wabula ssentebbe wab-Nyarwanda ku mwalo e Katosi, Paulo Niragire bino abiwakanyizza, agamba nti abakzi bentyini bebabakema, nokubakakasa nti ssi bafumbo.