Bya Shamim Nateebwa
Poliisi e Buikwe eriko omuwala gweggaliddwa nga kibigambibwa nti yabye omwana.
Omukate ye Recho Nalunkuuma owemyaka 19 ngagambibwa okubeera omutuuze we Mpatta mu district ye Mukono, wabula ate oluvannyuma agambye nti abeera Bukasa–Buloba mu disitulikiti y’e Wakiso.
Ono abadde atwalidde Saidi Nsereko eyali muganzi we ow’e Kabanga mu Divizion y’e Najjembe mu munispaali ye Lugazi, omwana bamutuume amannya.
Nsereko agamba nti mu kutunuulira omwana ono, abadde talina kyamufaananako, kwekusaba bamuwe akalira k’omwana n’ekipandde kweyanywera eddagala nga tabirina.
Kati omusajja amulimbyelimbye namutwala ku poliisi e Lugazi, ngeno gyategerezza nti omwana ssi wuwe, nga yaamuggye ku mulamu we amufunireko ssente.
Omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti y’e Buikwe Alex Wabwire agambye nti Nalunkuuma bamuggalidde nga bwebanonyereza awatuufu gyeyajja omwana.