Bya Ritah Kemigisa
Waliwo abavubuka ba NRM 15 abakwatiddwa, wansi wekibiina NRM Social media Activists, nga kati baggalioddwa ku CPS mu Kampala.
Bano bajiddwa ku wankaaki wa palamenti, nga bagamba nti babadde bazze kwekubira nduulu ewa sipiika, nga bawkanya ekya plamenti ya Bungerza okunauwka netandika okuteesa ku democrasiya wa Uganda.
Bano babadde bagamba nti bagala Rebecca Kadaga agobe omubaka wa Bungereza kuno,nokuyimiriza emirmu gyabwe mu Uganda.
Kinajjukirwa palamenti ya Bungereza, House of Commons wiiki ewedde, yateesa ku Uganda, ababaka nebavunmirira ebikolwa ebyokutyoboola eddembe lyobuntu, enguzi nebiralala ebigambibwa nti bifumbekedde mu Uganda.
Wabula akulira ebyamwulire mu palamenti Chris Obore akaksizza nti basobodde, okufuna ekiwandiiko kyabavubuka bano, omuli okwemulugunya kwabwe.