Skip to content Skip to footer

Abe Nakawa-Naguru bawadde gavumenti wiiki 2 zokka

Bya Damalie Mukhaye

Abaali abasenze ku ttaka lye Naguru-Nakawa bawadde gavumenti ssalessale wa wiiki 2, okubaliyirira oba ssi ekyo bawera nti bakwezza ku ttaka lino.

Bvwabadde ayogerako ne banamwulire, ssentebbe owa Naguru-Nakawa estates Simon Barigo agamba nti gavumenti bweyabasindikiriza mu 2008, babsubiza amayumba agomulembe 1,747 nokuzimbawo ekibuga ekyomulembe, naye nolwaleero mpaawo kyali kikoleddwa.

Kati agamba baweddemu esuubi, era gavumenti bwetakikole mu bbanga lino, tewali kulonza lonza, bakwezza ku ttaka lyabwe.

Leave a comment

0.0/5