Bya Getrude Mutyaba.
Abatuuze be Mwota mu Lukaya town Council mu district ye Kalungu bali mu kutya olwa mutuuze munabwe okuttibwamu bukambwe.
Attiddwa abadde avuga boda boda nga ategeerekese nga Muzafaru Magembe owe myaka 28
Okusinziira ku mukwanogwe Steven Kamya, omugenzi yakomye kulabwako saawa nga eggulo nga talina piki piki ye wabula kyoka bagenze okumusanga nga attidwa.
Omwogezi wa poliisi mu greater Masaka Lameck Kigozi akakasizza okufa kwa Magembe