Bya Ivan Ssenabulya
Ebibiina byobwanakyeewa ebitabulidde government olwokutondawo akakiiko kano kebaatuma Electronic Crime Counter Measures Unit, akalondoola abagambibwa okukozesa obubi internet kebagamba nti kaliwo kumalako bantu mirembe.
Alipoota efulumuziddwa aba Unwanted Witness nga kino ky’ekibiina ekirwanirira edembe lyabantu abakozesa internet eraze nga abantu 25 bwebakakwatibwwa okuviira dala mu 2011,okuli Dr. Stellah Nyanzi, banamawulire ba Red Pepper nabalala , kyoka nga kubano mpaawo yali avunaniddwa
Kati akulira ekibiina kino Dorothy Mukasa agamba nti bano bakola mungeri yabumenyi bwamateeka, kale nga beetaaga nakuwera.
Wabula ono newankubade akalambidde yo police egamba nti bano ebakwatiwa wansi weteeka elyayisibwa parliament elya computer misuse act